Levítico 20

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs ARA

Sair da comparação
ARA Almeida Revista e Atualizada 1993
1 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
1 Disse mais o Senhor a Moisés:
2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja.
2 Também dirás aos filhos de Israel: Qualquer dos filhos de Israel, ou dos estrangeiros que peregrinam em Israel, que der de seus filhos a Moloque será morto; o povo da terra o apedrejará.
3 Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.
3 Voltar-me-ei contra esse homem, e o eliminarei do meio do seu povo, porquanto deu de seus filhos a Moloque, contaminando, assim, o meu santuário e profanando o meu santo nome.
4 Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta,
4 Se o povo da terra fechar os olhos para não ver esse homem, quando der de seus filhos a Moloque, e o não matar,
5 omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
5 então, eu me voltarei contra esse homem e contra a sua família e o eliminarei do meio do seu povo, com todos os que após ele se prostituem com Moloque.
6 “ ‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
6 Quando alguém se virar para os necromantes e feiticeiros, para se prostituir com eles, eu me voltarei contra ele e o eliminarei do meio do seu povo.
7 “ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
7 Portanto, santificai-vos e sede santos, pois eu sou o Senhor , vosso Deus.
8 Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.
8 Guardai os meus estatutos e cumpri-os. Eu sou o Senhor , que vos santifico.
9 “ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
9 Se um homem amaldiçoar a seu pai ou a sua mãe, será morto; amaldiçoou a seu pai ou a sua mãe; o seu sangue cairá sobre ele.
10 “ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.
10 Se um homem adulterar com a mulher do seu próximo, será morto o adúltero e a adúltera.
11 “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
11 O homem que se deitar com a mulher de seu pai terá descoberto a nudez de seu pai; ambos serão mortos; o seu sangue cairá sobre eles.
12 “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
12 Se um homem se deitar com a nora, ambos serão mortos; fizeram confusão; o seu sangue cairá sobre eles.
13 “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
13 Se também um homem se deitar com outro homem, como se fosse mulher, ambos praticaram coisa abominável; serão mortos; o seu sangue cairá sobre eles.
14 “ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
14 Se um homem tomar uma mulher e sua mãe, maldade é; a ele e a elas queimarão, para que não haja maldade no meio de vós.
15 “ ‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga.
15 Se também um homem se ajuntar com um animal, será morto; e matarás o animal.
16 “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.
16 Se uma mulher se achegar a algum animal e se ajuntar com ele, matarás tanto a mulher como o animal; o seu sangue cairá sobre eles.
17 “ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
17 Se um homem tomar a sua irmã, filha de seu pai ou filha de sua mãe, e vir a nudez dela, e ela vir a dele, torpeza é; portanto, serão eliminados na presença dos filhos do seu povo; descobriu a nudez de sua irmã; levará sobre si a sua iniquidade.
18 “ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
18 Se um homem se deitar com mulher no tempo da enfermidade dela e lhe descobrir a nudez, descobrindo a sua fonte, e ela descobrir a fonte do seu sangue, ambos serão eliminados do meio do seu povo.
19 “ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
19 Também a nudez da irmã de tua mãe ou da irmã de teu pai não descobrirás; porquanto descobriu a nudez da sua parenta, sobre si levarão a sua iniquidade.
20 “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
20 Também se um homem se deitar com a sua tia, descobriu a nudez de seu tio; seu pecado sobre si levarão; morrerão sem filhos.
21 “ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
21 Se um homem tomar a mulher de seu irmão, imundícia é; descobriu a nudez de seu irmão; ficarão sem filhos.
22 “ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.
22 Guardai, pois, todos os meus estatutos e todos os meus juízos e cumpri-os, para que vos não vomite a terra para a qual vos levo para habitardes nela.
23 Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.
23 Não andeis nos costumes da gente que eu lanço de diante de vós, porque fizeram todas estas coisas; por isso, me aborreci deles.
24 Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
24 Mas a vós outros vos tenho dito: em herança possuireis a sua terra, e eu vo-la darei para a possuirdes, terra que mana leite e mel. Eu sou o Senhor , vosso Deus, que vos separei dos povos.
25 “ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu.
25 Fareis, pois, distinção entre os animais limpos e os imundos e entre as aves imundas e as limpas; não vos façais abomináveis por causa dos animais, ou das aves, ou de tudo o que se arrasta sobre a terra, as quais coisas apartei de vós, para tê-las por imundas.
26 Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
26 Ser-me-eis santos, porque eu, o Senhor , sou santo e separei-vos dos povos, para serdes meus.
27 “ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”
27 O homem ou mulher que sejam necromantes ou sejam feiticeiros serão mortos; serão apedrejados; o seu sangue cairá sobre eles.

Ler em outra tradução

Comparar com outra

Estude este capítulo no WhatsApp

Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Levítico 20, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.