Levítico 18
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs VC
1 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
1 O Senhor disse a Moisés:
2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.
2 "Dize aos israelitas o seguinte: eu sou o Senhor, vosso Deus.
3 Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
3 Não procedereis conforme os costumes do Egito onde habitastes, ou de Canaã aonde vos conduzi: não seguireis seus costumes.
4 Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
4 Praticareis meus preceitos e observareis minhas leis, e a elas obedecereis. Eu sou o Senhor, vosso Deus.
5 Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda wammwe.
5 Observareis meus preceitos e minhas leis: o homem que o observar viverá por eles. Eu sou o Senhor.
6 “ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.
6 Nenhum de vós se achegará àquela que lhe é próxima por sangue, para descobrir sua nudez. Eu sou o Senhor.
7 “ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.
7 Não descobrirás a nudez de teu pai, nem a de tua mãe. Ela é tua mãe: não descobrirás a sua nudez.
8 “ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.
8 Não descobrirás a nudez da mulher de teu pai: é a nudez de teu pai.
9 “ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.
9 Nem a de tua irmã, filha de teu pai ou de tua mãe, nascida na casa ou fora dela.
10 “ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.
10 Não descobrirás a nudez da filha de teu filho ou da filha de tua filha, porque é tua nudez.
11 “ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.
11 Nem a da filha da mulher de teu pai, nascida de teu pai: é tua irmã.
12 “ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.
12 Não descobrirás a nudez da irmã de teu pai: ela é da mesma carne que teu pai.
13 “ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.
13 Nem a da irmã de tua mãe; porque ela é da mesma carne que tua mãe.
14 “ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.
14 Não descobrirás a nudez do irmão de teu pai, aproximando-te de sua mulher: é tua tia.
15 “ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.
15 Não descobrirás a nudez de tua nora: é a mulher de teu filho. Não descobrirás, pois, a sua nudez.
16 “ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.
16 Nem a da mulher de teu irmão: é a nudez de teu irmão.
17 “ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.
17 Não descobrirás a nudez de uma mulher e de sua filha, e não tomarás a filha de seu filho, nem a filha de sua filha, para descobrir a sua nudez: elas são tuas próximas parentas, e isso seria um crime.
18 “ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.
18 Não tomarás a irmã de tua mulher, de modo que lhe seja um rival, descobrindo a sua nudez com a de tua mulher durante a sua vida.
19 “ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.
19 Não te achegarás a uma mulher durante a sua menstruação para descobrir a sua nudez.
20 “ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.
20 Não terás comércio com a mulher de teu próximo: contaminar-te-ias com ela.
21 “ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.
21 Não darás nenhum de teus filhos para ser sacrificado a Moloc; e não profanarás o nome de teu Deus. Eu sou o Senhor.
22 “ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.
22 Não te deitarás com um homem, como se fosse mulher: isso é uma abominação.
23 “ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.
23 Não terás comércio com um animal, para te contaminares com ele. Uma mulher não se prostituirá a um animal: isso é uma abominação.
24 “ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu;
24 Não vos contamineis com nenhuma dessas coisas, porque é assim que se contaminaram as nações que vou expulsar diante de vós.
25 n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema.
25 A terra está contaminada; punirei suas iniqüidades e a terra vomitará seus habitantes.
26 Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo.
26 Vós, porém, observareis minhas leis e minhas ordens, e não cometereis nenhuma dessas abominações, tanto o aborígine como o estrangeiro que habita no meio de vós,
27 Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu.
27 porque todas essas abominações cometeram os habitantes da terra que vos precederam, e a terra está contaminada.
28 Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.
28 Desse modo a terra não vos vomitará por havê-la contaminado, como vomitou os povos que a habitaram antes de vós.
29 “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.
29 Todos aqueles, com efeito, que cometerem qualquer dessas abominações, serão cortados do meio de seu povo.
30 Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
30 Guardareis, pois, os meus mandamentos, e não seguireis nenhum dos costumes abomináveis que se praticavam antes de vós, e não vos contaminareis por eles. Eu sou o Senhor, vosso Deus."
Atalhos do teclado
- Capítulo anterior←
- Próximo capítulo→
- Versículo anteriork
- Próximo versículoj
- Limpar seleçãoEsc
- Esta ajuda?
Estude este capítulo no WhatsApp
Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Levítico 18, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.