Jeremias 28
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs NVT
1 Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti,
1 Naquele mesmo ano, o quarto ano do reinado de Zedequias, rei de Judá, no mês de agosto, Hananias, filho de Azur, um profeta de Gibeom, se dirigiu a mim publicamente no templo, diante de todos os sacerdotes e do povo, e disse:
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.
2 “Assim diz o S enhor dos Exércitos, o Deus de Israel: ‘Removerei do seu pescoço o jugo do rei da Babilônia.
3 Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni.
3 Dentro de dois anos, trarei de volta todos os objetos preciosos do templo que o rei Nabucodonosor levou para a Babilônia.
4 Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’ ”
4 Também trarei de volta Joaquim, filho de Jeoaquim, rei de Judá, e todos os outros exilados de Judá levados para a Babilônia. Certamente quebrarei o jugo que o rei da Babilônia colocou sobre seu pescoço. Eu, o S enhor , falei!’”.
5 Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti,
5 Jeremias respondeu a Hananias diante de todos os sacerdotes e do povo que estava no templo do S enhor :
6 “Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni.
6 “Amém! Que sua profecia se cumpra! Espero que o S enhor faça tudo que você anunciou. Espero que ele traga de volta da Babilônia os objetos preciosos do templo e todos os exilados.
7 Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira.
7 Agora, porém, ouça as palavras que lhe digo na presença de todo o povo.
8 Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi.
8 Os antigos profetas, que vieram antes de você e de mim, falaram contra muitas nações e grandes reinos, e sempre advertiram a respeito de guerra, calamidade e doença.
9 Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”
9 Portanto, um profeta que anuncia paz precisa esperar que suas previsões se cumpram antes de ser considerado, de fato, enviado pelo S enhor ”.
10 Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya,
10 Então o profeta Hananias tirou do pescoço de Jeremias o jugo e o quebrou em pedaços.
11 n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.
11 E disse novamente a todo o povo: “Assim diz o S enhor : ‘Assim como este jugo foi quebrado, dentro de dois anos quebrarei o jugo de opressão de todas as nações que agora estão sujeitas a Nabucodonosor, rei da Babilônia’”. Depois disso, Jeremias saiu dali.
12 Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
12 Logo após o confronto com Hananias, o S enhor deu esta mensagem a Jeremias:
13 “Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma.
13 “Vá e diga a Hananias: ‘Assim diz o S enhor : Você quebrou o jugo de madeira, mas em seu lugar colocou um jugo de ferro.
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ”
14 O S enhor dos Exércitos, o Deus de Israel, diz: Coloquei um jugo de ferro sobre o pescoço de todas essas nações para serem escravas de Nabucodonosor, rei da Babilônia. Coloquei tudo debaixo de seu controle, até os animais selvagens’”.
15 Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba.
15 Então Jeremias disse a Hananias: “Ouça, Hananias! O S enhor não enviou você, mas o povo acredita em suas mentiras.
16 Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’ ”
16 Por isso, assim diz o S enhor : ‘Você morrerá. Sua vida chegará ao fim ainda este ano, pois você se rebelou contra o S enhor ’”.
17 Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.
17 Naquele mesmo ano, dois meses depois, o profeta Hananias morreu.
Atalhos do teclado
- Capítulo anterior←
- Próximo capítulo→
- Versículo anteriork
- Próximo versículoj
- Limpar seleçãoEsc
- Esta ajuda?
Estude este capítulo no WhatsApp
Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Jeremias 28, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.