Ezequiel 45

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs ACF

Sair da comparação
ACF Almeida Corrigida Fiel
1 “ ‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu.
1 Quando, pois, repartirdes a terra em herança, oferecereis uma oferta ao SENHOR, uma porção santa da terra; o seu comprimento será de vinte e cinco mil canas e a largura de dez mil. Esta será santa em toda a sua extensão ao redor.
2 Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga.
2 Desta porção o santuário ocupará quinhentas canas de comprimento, e quinhentas de largura, em quadrado, e terá em redor um espaço vazio de cinqüenta côvados.
3 Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
3 E desta porção medirás vinte e cinco mil côvados de comprimento, e a largura de dez mil; e ali estará o santuário, o lugar santíssimo.
4 Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu.
4 Esta será a porção santa da terra; ela será para os sacerdotes, ministros do santuário, que dele se aproximam para servir ao Senhor; e lhes servirá de lugar para suas casas, e de lugar santo para o santuário.
5 Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu n’obugazi mayilo ssatu kye kiriba eky’Abaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba n’ebisenge amakumi abiri eby’okubeeramu ng’ebyo bye bikola ebibuga byabwe.’
5 E os levitas, ministros da casa, terão em sua possessão, vinte e cinco mil canas de comprimento, para vinte câmaras.
6 “ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’
6 E para possessão da cidade, de largura dareis cinco mil canas, e de comprimento vinte e cinco mil, defronte da oferta santa; o que será para toda a casa de Israel.
7 “ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu.
7 O príncipe, porém, terá a sua parte deste e do outro lado da área santa, e da possessão da cidade, diante da santa oferta, e em frente da possessão da cidade, desde o extremo ocidental até o extremo oriental, e de comprimento, corresponderá a uma das porções, desde o termo ocidental até ao termo oriental.
8 Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’
8 E esta terra será a sua possessão em Israel; e os meus príncipes nunca mais oprimirão o meu povo, antes deixarão a terra à casa de Israel, conforme as suas tribos.
9 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda.
9 Assim diz o Senhor DEUS: Basta já, ó príncipes de Israel; afastai a violência e a assolação e praticai juízo e justiça; tirai as vossas imposições do meu povo, diz o Senhor DEUS.
10 Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika.
10 Tereis balanças justas, efa justo e bato justo.
11 Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa.
11 O efa e o bato serão de uma mesma medida, de modo que o bato contenha a décima parte do ômer, e o efa a décima parte do ômer; conforme o ômer será a sua medida.
12 Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri n’ogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, n’oyongerako sekeri kkumi na ttaano, n’ewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe.
12 E o siclo será de vinte geras; vinte siclos, vinte e cinco siclos, e quinze siclos terá a vossa mina.
13 “ ‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri.
13 Esta será a oferta que haveis de oferecer: a sexta parte de um efa de cada ômer de trigo; também dareis a sexta parte de um efa de cada ômer de cevada.
14 Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri.
14 Quanto à ordenança do azeite, de cada bato de azeite oferecereis a décima parte de um bato tirado de um coro, que é um ômer de dez batos; porque dez batos fazem um ômer.
15 Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda.
15 E um cordeiro do rebanho, de cada duzentos, da terra mais regada de Israel, para oferta de alimentos, e para holocausto, e para sacrifício pacífico; para que façam expiação por eles, diz o Senhor DEUS.
16 Abantu bonna ab’omu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri.
16 Todo o povo da terra concorrerá com esta oferta, para o príncipe em Israel.
17 Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.
17 E estarão a cargo do príncipe os holocaustos, e as ofertas de alimentos, e as libações, nas festas, e nas luas novas, e nos sábados, em todas as solenidades da casa de Israel. Ele preparará a oferta pelo pecado, e a oferta de alimentos, e o holocausto, e os sacrifícios pacíficos, para fazer expiação pela casa de Israel.
18 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu.
18 Assim diz o Senhor DEUS: No primeiro mês, no primeiro dia do mês, tomarás um bezerro sem mancha e purificarás o santuário.
19 Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda.
19 E o sacerdote tomará do sangue do sacrifício pelo pecado, e porá dele nas ombreiras da casa, e nos quatro cantos da armação do altar, e nas ombreiras da porta do átrio interior.
20 Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.
20 Assim também farás no sétimo dia do mês, pelos que erram, e pelos símplices; assim expiareis a casa.
21 “ ‘Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.
21 No primeiro mês, no dia catorze do mês, tereis a páscoa, uma festa de sete dias; pão ázimo se comerá.
22 Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi.
22 E no mesmo dia o príncipe preparará por si e por todo o povo da terra, um bezerro como oferta pelo pecado.
23 Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
23 E durante os sete dias da festa preparará um holocausto ao Senhor, de sete bezerros e sete carneiros sem mancha, cada dia, durante os sete dias; e em sacrifício pelo pecado um bode cada dia.
24 Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa.
24 Também preparará uma oferta de alimentos, a saber, um efa, para cada bezerro, e um efa para cada carneiro, e um him de azeite para cada efa.
25 “ ‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’
25 No sétimo mês, no dia quinze do mês, na festa, fará o mesmo por sete dias, tanto o sacrifício pelo pecado, como o holocausto, e como a oferta de alimentos, e como o azeite.

Ler em outra tradução

Comparar com outra

Estude este capítulo no WhatsApp

Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Ezequiel 45, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.