Ezequiel 25
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs VC
1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
1 A palavra do Senhor foi-me dirigida nestes termos:
2 “Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi.
2 filho do homem, volta a tua face para os amonitas e profetiza contra eles.
3 Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse,
3 Dize-lhes: escutai a palavra do Senhor Javé: Eis o que diz o Senhor Javé: Porque disseste: Ah! Ah! quando da profanação do meu santuário, quando da devastação da terra de Israel,e da deportação da casa de Judá,
4 kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe.
4 por isso, vou entregar-te aos filhos do Oriente, que estabelecerão em tua morada os seus acampamentos e plantarão aí as suas tendas. Eles comerão teus frutos, beberão teu leite.
5 Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama.
5 Farei de Rabat um parque de camelos, e da terra dos amonitas um aprisco de ovelhas; assim sabereis que sou eu o Senhor.
6 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri,
6 Eis o que diz o Senhor Javé: Porque bateste palmas e bateste com o pé, e porque manifestaste riso e desdém pela terra de Israel,
7 kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”
7 por isso, vou estender minha mão contra ti, entregar-te à pilhagem das nações, suprimir-te dentre os povos, expulsar-te de tua casa e aniquilar-te. Assim saberás que eu sou o Senhor.
8 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,”
8 Eis o que diz o Senhor Javé: Visto que Moab e Seir dizem: A casa de Judá é igual a todas as demais nações,
9 kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo.
9 eu vou, eu mesmo, abrir o flanco de Moab, arrebatando suas cidades, todas as cidades do seu território, o ornamento da terra: Bet-Jechimot, Baal-Meon e Quiriat-Aim.
10 Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga,
10 Eu o dou, assim como a terra dos amonitas, em possessão aos filhos do Oriente, a fim de que Amon não mais seja mencionado entre as nações.
11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”
11 Assim exercerei meu juízo sobre Moab, e ficarão sabendo que eu sou o Senhor.
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo,
12 Eis o que diz o Senhor Javé: Já que Edom exerceu sua vingança contra a casa de Judá, e se tornou culpado, tomando vingança,
13 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala.
13 por isso - oráculo do Senhor Javé - vou estender a mão contra Edom, exterminar dele animais e homens, e transformá-lo num deserto; em seguida, desde Temã até Dedã, tombarão sob o gládio.
14 Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
14 Exercerei minha vingança contra Edom pela mão de Israel, meu povo, que os tratará segundo o meu furor, e eles saberão o que vale minha vingança - oráculo do Senhor Javé.
15 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda,
15 Eis o que diz o Senhor Javé: Já que os filisteus exerceram vingança, usaram de cruéis represálias, com o coração cheio de desprezo, e em seu ódio inveterado procuraram destruir tudo,
16 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza.
16 por isso - oráculo do Senhor Javé - estenderei a mão sobre eles, exterminarei os cretenses, e farei perecer o que resta do litoral;
17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”
17 exercerei sobre eles uma vingança terrível, furiosos castigos; e, quando eu executar sobre eles a minha vingança, saberão que eu sou o Senhor.
Atalhos do teclado
- Capítulo anterior←
- Próximo capítulo→
- Versículo anteriork
- Próximo versículoj
- Limpar seleçãoEsc
- Esta ajuda?
Estude este capítulo no WhatsApp
Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Ezequiel 25, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.