Ezequiel 16

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs NTLH

Sair da comparação
NTLH Nova Tradução na Linguagem de Hoje 2000
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
1 O Senhor falou comigo de novo. Ele disse:
2 “Omwana w’omuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye eby’ekivve,
2 — Homem mortal , mostre a Jerusalém as coisas nojentas que ela tem feito.
3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti.
3 Diga a Jerusalém que o Senhor Deus lhe diz o seguinte: — Você nasceu na terra de Canaã. O seu pai era amorreu, e a sua mãe era heteia .
4 Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye.
4 Quando você nasceu, ninguém cortou o cordão do seu umbigo, nem lhe deu banho, nem esfregou sal em você, nem a enrolou em panos.
5 Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.
5 Ninguém teve dó bastante para lhe fazer qualquer uma dessas coisas. Quando você nasceu, ninguém gostava de você, e até a jogaram no mato.
6 “ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!”
6 — Então passei por perto e vi você rolando no seu próprio sangue. Embora você estivesse coberta de sangue, eu não deixei que morresse.
7 Ne nkukuza ne nkulabirira ng’ekimuli mu nnimiro. N’okula n’owanvuwa n’olabika bulungi nnyo mu maaso ng’amayinja ag’omuwendo omungi; n’osuna amabeere, n’enviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako.
7 Eu a fiz crescer como uma planta sadia. Você cresceu forte e alta e ficou moça. Os seus seios se formaram, e os seus cabelos ficaram compridos, mas você estava nua.
8 “ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.
8 — Quando passei de novo, vi que havia chegado o tempo de você amar. Então cobri o seu corpo nu com a minha capa e prometi amar você. Sim! Fiz um contrato de casamento com você, e você se tornou minha. Sou eu, o Senhor Deus, quem está falando.
9 “ ‘Ne nkunaaza n’amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta.
9 — Eu a lavei com água e limpei o sangue que a cobria. Passei azeite na sua pele.
10 Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa n’engatto ez’amaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ez’omuwendo omungi.
10 Eu a vesti com roupas bordadas e lhe dei sapatos do melhor couro, um turbante de linho e uma capa de seda.
11 Ne kunaanika amayinja ag’omuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, n’omukuufu mu bulago,
11 Eu a enfeitei com joias — pulseiras e colares.
12 ne nkuteeka empeta mu nnyindo, n’eby’omu matu ku matu, ne nkutikkira n’engule ku mutwe.
12 Dei uma argola para o seu nariz, brincos para as suas orelhas e uma linda coroa para a sua cabeça.
13 Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi.
13 As suas joias eram de ouro e prata, e você sempre usou vestidos bordados, de linho e de seda. Você comeu pão feito da melhor farinha e tinha mel e azeite à vontade. Você era muito bonita e chegou a ser rainha.
14 Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.
14 Em todas as nações falavam da sua beleza perfeita porque fui eu que a fiz assim tão linda. Sou eu, o Senhor Deus, quem está falando.
15 “ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe.
15 — Mas você se aproveitou da sua beleza e da sua fama para dormir com qualquer um que passava .
16 Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga.
16 Usou os seus vestidos para enfeitar os seus lugares de adoração e ali você se entregava a qualquer um, como uma prostituta.
17 Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo,
17 Você pegou as joias de prata e de ouro que eu lhe tinha dado e com elas fez imagens de seres humanos; você foi infiel a mim, adorando essas imagens.
18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo.
18 Você pegou os vestidos bordados que lhe dei e com eles vestiu as imagens e ofereceu a elas o azeite e o incenso que eu lhe tinha dado.
19 N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.
19 Eu lhe dei comida: a melhor farinha, azeite e mel, mas você ofereceu tudo isso como sacrifício para agradar os ídolos. Sou eu, o Senhor Deus, quem está falando.
20 “ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala?
20 — Depois, você pegou os nossos filhos e as nossas filhas e os ofereceu como sacrifício aos ídolos. Será que não bastou que você tivesse sido infiel a mim?
21 Watta abaana bange n’obawaayo ng’ebiweebwayo eri bakatonda abalala.
21 Será que ainda precisou matar os meus filhos e oferecê-los em sacrifício aos ídolos?
22 Mu bikolwa byo byonna eby’ekivve n’obwenzi bwo, tewajjukira biseera eby’obuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bw’oli, era ng’osambagala mu musaayi gwo.
22 Durante a sua vida miserável de prostituta, nem uma vez você lembrou da sua juventude, quando estava nua, rolando no seu próprio sangue.
23 “ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna,
23 O Senhor Deus disse: — Ai de você! Sim! Ai de você! Depois de ter feito todo esse mal,
24 weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga.
24 você ainda construiu altares em todas as estradas para ali adorar ídolos e praticar a prostituição.
25 Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo.
25 Você arrastou a sua beleza pela lama. E se ofereceu a todos os que passavam e se afundou cada vez mais na prostituição e na adoração de ídolos.
26 Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza.
26 Você convidou os egípcios, seus vizinhos imorais, para que fossem para a cama com você, e por isso me deixou irado .
27 Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo.
27 — Portanto, agora eu levantei a mão para castigá-la e para tirar a parte que você tinha na minha bênção. Eu a entreguei aos filisteus, que a odeiam e que estão com nojo das ações imorais que você tem praticado.
28 Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira.
28 — Não satisfeita com tudo isso, você correu atrás dos assírios. Você foi prostituta deles, mas eles também não a deixaram satisfeita.
29 N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.
29 Depois, você serviu de prostituta para os babilônios, aquela nação de comerciantes, mas eles também não a deixaram satisfeita.
30 “ ‘Omutima gwo nga munafu, n’okwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ng’omwenzi ow’amawaggali ateefiirayo.
30 O Senhor Deus diz o seguinte: — Você fez tudo isso como uma prostituta sem-vergonha.
31 Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.
31 Em todas as ruas, você construiu altares para ali adorar ídolos e praticar a prostituição. Mas você não faz isso por dinheiro, como uma prostituta qualquer.
32 “ ‘Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo!
32 Você é como a mulher que, em vez de amar o seu marido, comete adultério com estranhos.
33 Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ng’obagulirira okujja gy’oli okuva buli wamu olw’obwenzi bwo.
33 A prostituta é paga, mas você deu presentes a todos os seus amantes e ainda lhes ofereceu lembranças para que viessem de todas as partes dormir com você.
34 Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.
34 Você é uma prostituta diferente. Ninguém a obrigou a se tornar prostituta. Você não recebe nada, mas paga! Sim! Você é diferente!
35 “ ‘Kale nno, wulira ekigambo kya Mukama ggwe omwenzi.
35 Por isso, agora, você, prostituta, escute o que o Senhor Deus diz.
36 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo,
36 E o que ele diz é isto: — Você tirou a roupa, e como prostituta se entregou aos seus amantes e a todos os seus ídolos vergonhosos, e matou os seus filhos em
37 kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.
37 Por causa disso, eu vou reunir todos os seus antigos amantes, tanto os que você apreciava como os que detestava. Eu os colocarei ao seu redor, em círculo; então arrancarei a sua roupa, e eles verão você nua.
38 Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ng’eky’abakazi abenzi n’abo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogw’ekiruyi n’obuggya.
38 Eu a condenarei por adultério e assassinato e na minha ira e furor vou castigá-la com a morte.
39 N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya.
39 Vou entregá-la a eles, e eles derrubarão os altares onde você se entregava à prostituição e onde adorava ídolos. Eles levarão as suas roupas e as suas joias e a deixarão completamente nua.
40 Balisendasenda enkuyanja y’abantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi n’ebitala byabwe.
40 — Eles vão atiçar a multidão para apedrejá-la e com as suas espadas cortarão você em pedaços.
41 Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera.
41 Eles destruirão com fogo as suas casas e deixarão que muitas mulheres vejam o seu castigo. Farei com que você deixe de ser prostituta, farei com que deixe de dar presentes aos seus amantes.
42 N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.
42 Aí o meu furor passará, e eu me acalmarei. Não ficarei mais irado, nem terei ciúmes.
43 “ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve?
43 Você esqueceu como eu a tratei quando era moça e me deixou irado com todas as coisas que fez. Foi por isso que a fiz pagar por tudo. Por que é que, além de todas as coisas nojentas que você fez, ainda foi imoral? Eu, o Senhor Deus, falei.
44 “ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.”
44 O Senhor Deus diz o seguinte: — Jerusalém, os outros usarão este provérbio a respeito de você: “Tal mãe, tal filha.”
45 Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli.
45 — De fato, você é a filha da sua mãe. Ela detestava o marido e os filhos. Você é como as suas irmãs, que odiavam os seus maridos e os seus filhos. Você e as cidades que são suas irmãs tiveram mãe heteia e pai amorreu .
46 Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olw’Obukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olw’Obukiikaddyo, era nga ye Sodomu.
46 — A sua irmã mais velha é Samaria, no Norte, com os povoados que ficam ao seu redor. A sua irmã mais moça, com os seus povoados, é Sodoma, no Sul.
47 Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, n’okukoppa ebikolwa byabwe eby’ekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi.
47 Por acaso, você se contentou em seguir os passos delas e em imitar as coisas nojentas que elas fizeram? Não! Em pouco tempo, você se tornou mais imoral do que elas em tudo o que fazia.
48 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.
48 — Jerusalém, juro pela minha vida — diz o Senhor Deus — que a sua irmã Sodoma e os povoados que ficam ao seu redor nunca pecaram tanto quanto você e os seus povoados.
49 “ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu.
49 Sodoma e as suas filhas eram orgulhosas porque tinham muita comida e viviam no conforto, sem fazer nada; porém não cuidaram dos pobres e dos necessitados.
50 Baali baamalala, era baakola ebikolwa eby’ekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima.
50 Elas foram orgulhosas e teimosas e fizeram as coisas que eu detesto; por isso, eu as destruí, como você sabe muito bem.
51 So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola.
51 — Samaria não cometeu a metade dos pecados que você, Jerusalém, cometeu. Você fez coisas ainda mais vergonhosas do que as suas irmãs Sodoma e Samaria fizeram. Elas até parecem inocentes quando a sua corrupção, Jerusalém, é comparada com a delas.
52 Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.
52 E agora você terá de suportar a sua desgraça. Os seus pecados são mais graves do que os das suas irmãs, tanto que elas até são inocentes em comparação com você. Agora, Jerusalém, fique envergonhada e aguente a sua humilhação, pois você faz com que as suas irmãs pareçam puras.
53 “ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo,
53 O Senhor Deus disse a Jerusalém: — Vou trazer progresso de novo para as suas irmãs: para Sodoma e os povoados que ficam ao seu redor e para Samaria e os seus povoados. E vou fazer com que você também prospere.
54 olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olw’ebyo byonna bye wakola ng’obawooyawooya.
54 Você terá vergonha de você mesma, e a sua desgraça mostrará às suas irmãs que elas estão em muito boas condições.
55 Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda.
55 De novo haverá progresso para elas, e você e os seus povoados também serão reconstruídos.
56 Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olw’amalala go,
56 No seu orgulho, você zombou de Sodoma,
57 okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala ab’e Busuuli ne baliraanwa be bonna, n’eri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma.
57 antes de ser descoberto o mal que você fazia. Agora, você se tornou igual a Sodoma: zombam de você os edomitas, os filisteus e os seus outros vizinhos que a odeiam.
58 Olibonerezebwa olw’obukaba bwo n’ebikolwa byo eby’ekivve, bw’ayogera Mukama Katonda.
58 Você precisa sofrer pelas coisas imorais e vergonhosas que fez. Eu, o Senhor , falei.
59 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano.
59 O Senhor Deus diz: — Jerusalém, eu a tratarei como merece, pois você quebrou as suas promessas e não respeitou a
60 Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
60 Mas eu manterei a aliança que fiz com você na sua mocidade e farei com você uma aliança que durará para sempre.
61 Olwo olijjukira engeri zo, n’oswala bw’olitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe.
61 Você lembrará do que fez e ficará envergonhada de receber de volta a sua irmã mais velha e a sua irmã mais moça. Eu as darei a você como se fossem filhas, embora isso não fizesse parte da nossa aliança.
62 Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze Mukama Katonda,
62 Renovarei a aliança que fiz com você, e você ficará sabendo que eu sou o Senhor .
63 n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
63 Eu perdoarei todas as coisas más que você fez, porém você lembrará delas e ficará envergonhada demais para dizer qualquer coisa. Eu, o Senhor Deus, falei.

Ler em outra tradução

Comparar com outra

Estude este capítulo no WhatsApp

Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Ezequiel 16, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.