Ezequiel 13

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs ARA

Sair da comparação
ARA Almeida Revista e Atualizada 1993
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti,
1 Veio a mim a palavra do Senhor , dizendo:
2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama.
2 Filho do homem, profetiza contra os profetas de Israel que, profetizando, exprimem, como dizes, o que lhes vem do coração. Ouvi a palavra do Senhor .
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye.
3 Assim diz o Senhor Deus: Ai dos profetas loucos, que seguem o seu próprio espírito sem nada ter visto!
4 Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa.
4 Os teus profetas, ó Israel, são como raposas entre as ruínas.
5 Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda.
5 Não subistes às brechas, nem fizestes muros para a casa de Israel, para que ela permaneça firme na peleja no Dia do Senhor .
6 Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
6 Tiveram visões falsas e adivinhação mentirosa os que dizem: O Senhor disse; quando o Senhor os não enviou; e esperam o cumprimento da palavra.
7 Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?
7 Não tivestes visões falsas e não falastes adivinhação mentirosa, quando dissestes: O Senhor diz, sendo que eu tal não falei?
8 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo.
8 Portanto, assim diz o Senhor Deus: Como falais falsidade e tendes visões mentirosas, por isso, eu sou contra vós outros, diz o Senhor Deus.
9 Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
9 Minha mão será contra os profetas que têm visões falsas e que adivinham mentiras; não estarão no conselho do meu povo, não serão inscritos nos registros da casa de Israel, nem entrarão na terra de Israel. Sabereis que eu sou o Senhor Deus.
10 “ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi,
10 Visto que andam enganando, sim, enganando o meu povo, dizendo: Paz, quando não há paz, e quando se edifica uma parede, e os profetas a caiam,
11 kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta.
11 dize aos que a caiam que ela ruirá. Haverá chuva de inundar. Vós, ó pedras de saraivada, caireis, e tu, vento tempestuoso, irromperás.
12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”
12 Ora, eis que, caindo a parede, não vos dirão: Onde está a cal com que a caiastes?
13 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza.
13 Portanto, assim diz o Senhor Deus: Tempestuoso vento farei irromper no meu furor, e chuva de inundar haverá na minha ira, e pedras de saraivada, na minha indignação, para a consumir.
14 Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
14 Derribarei a parede que caiastes, darei com ela por terra, e o seu fundamento se descobrirá; quando cair, perecereis no meio dela e sabereis que eu sou o Senhor .
15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze,
15 Assim, cumprirei o meu furor contra a parede e contra os que a caiaram e vos direi: a parede já não existe, nem aqueles que a caiaram,
16 abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’
16 os profetas de Israel que profetizaram a respeito de Jerusalém e para ela têm visões de paz, quando não há paz, diz o Senhor Deus.
17 “Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti,
17 Tu, ó filho do homem, põe-te contra as filhas do teu povo que profetizam de seu coração, profetiza contra elas
18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?
18 e dize: Assim diz o Senhor Deus: Ai das que cosem invólucros feiticeiros para todas as articulações das mãos e fazem véus para cabeças de todo tamanho, para caçarem almas! Querereis matar as almas do meu povo e preservar outras para vós mesmas?
19 Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.
19 Vós me profanastes entre o meu povo, por punhados de cevada e por pedaços de pão, para matardes as almas que não haviam de morrer e para preservardes com vida as almas que não haviam de viver, mentindo, assim, ao meu povo, que escuta mentiras.
20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba.
20 Portanto, assim diz o Senhor Deus: Eis aí vou eu contra vossos invólucros feiticeiros, com que vós caçais as almas como aves, e as arrancarei de vossas mãos; soltarei livres como aves as almas que prendestes.
21 Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
21 Também rasgarei os vossos véus e livrarei o meu povo das vossas mãos, e nunca mais estará ao vosso alcance para ser caçado; e sabereis que eu sou o Senhor .
22 Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe,
22 Visto que com falsidade entristecestes o coração do justo, não o havendo eu entristecido, e fortalecestes as mãos do perverso para que não se desviasse do seu mau caminho e vivesse,
23 ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
23 por isso, já não tereis visões falsas, nem jamais fareis adivinhações; livrarei o meu povo das vossas mãos, e sabereis que eu sou o Senhor .

Ler em outra tradução

Comparar com outra

Estude este capítulo no WhatsApp

Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Ezequiel 13, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.