Apocalipse 19

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs ARIB

Sair da comparação
ARIB Almeida Revisada Imprensa Bíblica
1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,
1 Depois destas coisas, ouvi no céu como que uma grande voz de uma imensa multidão, que dizia: Aleluia! A salvação e a glória e o poder pertencem ao nosso Deus;
2 Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
2 porque verdadeiros e justos são os seus juízos, pois julgou a grande prostituta, que havia corrompido a terra com a sua prostituição, e das mãos dela vingou o sangue dos seus servos.
3 Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
3 E outra vez disseram: Aleluia. E a fumaça dela sobe pelos séculos dos séculos.
4 Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,
4 Então os vinte e quatro anciãos e os quatro seres viventes prostraram-se e adoraram a Deus que está assentado no trono, dizendo: Amém. Aleluia!
5 Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:
5 E saiu do trono uma voz, dizendo: Louvai o nosso Deus, vós, todos os seus servos, e vós que o temeis, assim pequenos como grandes.
6 Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,
6 Também ouvi uma voz como a de grande multidão, como a voz de muitas águas, e como a voz de fortes trovões, que dizia: Aleluia! porque já reina o Senhor nosso Deus, o Todo-Poderoso.
7 Ka tusanyuke, tujaguze,
7 Regozijemo-nos, e exultemos, e demos-lhe a glória; porque são chegadas as bodas do Cordeiro, e já a sua noiva se preparou,
8 Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,
8 e foi-lhe permitido vestir-se de linho fino, resplandecente e puro; pois o linho fino são as obras justas dos santos.
9 Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”
9 E disse-me: Escreve: Bem-aventurados aqueles que são chamados à ceia das bodas do Cordeiro. Disse-me ainda: Estas são as verdadeiras palavras de Deus.
10 Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”
10 Então me lancei a seus pés para adorá-lo, mas ele me disse: Olha, não faças tal: sou conservo teu e de teus irmãos, que têm o testemunho de Jesus; adora a Deus; pois o testemunho de Jesus é o espírito da profecia.
11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo.
11 E vi o céu aberto, e eis um cavalo branco; e o que estava montado nele chama-se Fiel e Verdadeiro; e julga a peleja com justiça.
12 Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi.
12 Os seus olhos eram como chama de fogo; sobre a sua cabeça havia muitos diademas; e tinha um nome escrito, que ninguém sabia senão ele mesmo.
13 Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda.
13 Estava vestido de um manto salpicado de sangue; e o nome pelo qual se chama é o Verbo de Deus.
14 Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru.
14 Seguiam-no os exércitos que estão no céu, em cavalos brancos, e vestidos de linho fino, branco e puro.
15 Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.
15 Da sua boca saía uma espada afiada, para ferir com ela as nações; ele as regerá com vara de ferro; e ele mesmo é o que pisa o lagar do vinho do furor da ira do Deus Todo-Poderoso.
16 Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:
16 No manto, sobre a sua coxa tem escrito o nome: Rei dos reis e Senhor dos senhores.
17 Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu,
17 E vi um anjo em pé no sol; e clamou com grande voz, dizendo a todas as aves que voavam pelo meio do céu: Vinde, ajuntai-vos para a grande ceia de Deus,
18 mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
18 para comerdes carnes de reis, carnes de comandantes, carnes de poderosos, carnes de cavalos e dos que neles montavam, sim, carnes de todos os homens, livres e escravos, pequenos e grandes.
19 Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye.
19 E vi a besta, e os reis da terra, e os seus exércitos reunidos para fazerem guerra àquele que estava montado no cavalo, e ao seu exército.
20 Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa.
20 E a besta foi presa, e com ela o falso profeta que fizera diante dela os sinais com que enganou os que receberam o sinal da besta e os que adoraram a sua imagem. Estes dois foram lançados vivos no lago de fogo que arde com enxofre.
21 Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
21 E os demais foram mortos pela espada que saía da boca daquele que estava montado no cavalo; e todas as aves se fartaram das carnes deles.

Ler em outra tradução

Comparar com outra

Estude este capítulo no WhatsApp

Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Apocalipse 19, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.