Apocalipse 14
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs VC
1 Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo.
1 Eu vi ainda: o Cordeiro estava de pé no monte Sião, e perto dele cento e quarenta e quatro mil pessoas que traziam escritos na fronte o nome dele e o nome de seu Pai.
2 Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe.
2 Ouvia, entretanto, um coro celeste semelhante ao ruído de muitas águas e ao ribombar de potente trovão. Esse coro que eu ouvia era ainda semelhante a músicos tocando as suas cítaras.
3 Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.
3 Cantavam como que um cântico novo diante do trono, diante dos quatro Animais e dos Anciãos. Ninguém podia aprender este cântico, a não ser aqueles cento e quarenta e quatro mil que foram resgatados da terra.
4 Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga.
4 Estes são os que não se contaminaram com mulheres, pois são virgens. São eles que acompanham o Cordeiro por onde quer que vá; foram resgatados dentre os homens, como primícias oferecidas a Deus e ao Cordeiro.
5 Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.
5 Em sua boca não se achou mentira, pois são irrepreensíveis.
6 Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu.
6 Vi, então, outro anjo que voava pelo meio do céu, tendo um evangelho eterno para anunciar aos habitantes da terra e a toda nação, tribo, língua e povo.
7 N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”
7 Clamava em alta voz: Temei a Deus, e dai-lhe glória, porque é chegada a hora do seu julgamento. Adorai aquele que fez o céu e a terra, o mar e as fontes.
8 Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”
8 Outro anjo seguiu-o, dizendo: Caiu, caiu a grande Babilônia, por ter dado de beber a todas as nações do vinho de sua imundície desenfreada.
9 Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo,
9 Um terceiro anjo seguiu-os, dizendo em alta voz: Se alguém adorar a Fera e a sua imagem, e aceitar o seu sinal na fronte ou na mão,
10 oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.
10 há de beber também o vinho da cólera divina, o vinho puro deitado no cálice da sua ira. Será atormentado pelo fogo e pelo enxofre diante dos seus santos anjos e do Cordeiro.
11 Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo.
11 A fumaça do seu tormento subirá pelos séculos dos séculos. Não terão descanso algum, dia e noite, esses que adoram a Fera e a sua imagem, e todo aquele que acaso tenha recebido o sinal do seu nome.
12 Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”
12 Eis o momento para apelar para a paciência dos santos, dos fiéis, aos mandamentos de Deus e à fé em Jesus.
13 Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”
13 Eu ouvi uma voz do céu, que dizia: Escreve: Felizes os mortos que doravante morrem no Senhor. Sim, diz o Espírito, descansem dos seus trabalhos, pois as suas obras os seguem.
14 Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe.
14 Eu vi ainda uma nuvem branca, sobre a qual se sentava como que um Filho do Homem, com a cabeça cingida de coroa de ouro e na mão uma foice afiada.
15 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.”
15 Outro anjo saiu do templo, gritando em voz alta para aquele que estava assentado na nuvem: Lança a tua foice e ceifa, porque é chegada a hora de ceifar, pois está madura a seara da terra.
16 Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.
16 O Ser que estava assentado na nuvem lançou então a foice à terra, e a terra foi ceifada.
17 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi.
17 Outro anjo saiu do templo do céu. Tinha também uma foice afiada.
18 Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.”
18 E outro anjo, aquele que tem poder sobre o fogo, saiu do altar e bradou em alta voz para aquele que tinha a foice afiada: Lança a foice afiada e vindima os cachos da vinha da terra, porque maduras estão as suas uvas.
19 Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda.
19 O anjo lançou a sua foice à terra e vindimou a vinha da terra, e atirou os cachos no grande lagar da ira de Deus.
20 Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).
20 O lagar foi pisado fora da cidade, e do lagar saiu sangue que atingiu até o nível dos freios dos cavalos pelo espaço de mil e seiscentos estádios.
Atalhos do teclado
- Capítulo anterior←
- Próximo capítulo→
- Versículo anteriork
- Próximo versículoj
- Limpar seleçãoEsc
- Esta ajuda?
Estude este capítulo no WhatsApp
Peça à IA da Bíblia Fala para explicar Apocalipse 14, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.