1 Reis 20
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ (LUG) vs VC
1 Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo.
1 Ben-Hadad, rei da Síria, mobilizou todo o seu exército. Tinha com ele trinta e dois reis, cavalos e carros. Subiu, pôs o cerco diante de Samaria e atacou-a.
2 N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti,
2 Mandou mensageiros a Acab, rei de Israel, na cidade, com esta mensagem:
3 ‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’ ”
3 Eis o que diz Ben-Hadad: Tua prata e teu ouro são meus. São minhas as tuas mulheres e os mais belos de teus filhos.
4 Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.”
4 Como tu dizes, meu senhor e rei, respondeu Acab, eu sou teu com tudo o que me pertence.
5 Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo.
5 Mas os mensageiros voltaram e disseram: Isto diz Ben-Hadad: Mandou-te dizer: dá-me tua prata e teu ouro, tuas mulheres e teus filhos.
6 Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ”
6 Amanhã, pois, a esta mesma hora, mandarei os meus servos à tua casa; eles a revistarão, assim como as casas de teus servos; tomarão com as suas mãos tudo o que lhes aprouver.
7 Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”
7 Então o rei de Israel convocou todos os anciãos da terra e disse-lhes: Considerai e vede que esse homem quer a nossa perda. Quando me mandou pedir minhas mulheres, meus filhos, minha prata e meu ouro, nada lhe recusei.
8 Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”
8 Os anciãos e todo o povo disseram-lhe: Não lhe dês ouvidos, nem o atendas em nada.
9 Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ”
9 Acab respondeu aos mensageiros de Ben-Hadad: Dizei ao rei, meu senhor: estou pronto a fazer o que pediste ao teu servo da primeira vez; mas o que agora exiges, não o posso consentir. Os mensageiros foram-se e deram tal resposta ao rei.
10 Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”
10 Ben-Hadad mandou dizer a Acab: Que os deuses me tratem com o mais extremo rigor, se o pó da Samaria bastar para encher o côncavo da mão dos guerreiros que me seguem!
11 Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ”
11 O rei de Israel, respondendo, disse: Dizei-lhe que aquele que põe o seu cinturão não deve gloriar-se como aquele que o tira.
12 Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
12 Recebendo esta resposta, Ben-Hadad, que estava bebendo nas suas tendas com os reis, disse à sua gente: Aos vossos postos! E eles ordenaram as tropas para o ataque à cidade.
13 Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”
13 Nesse momento, um profeta aproximou-se de Acab, rei de Israel, e disse-lhe: Eis o que diz o Senhor: Vês esta imensa multidão? Pois declaro-te que hoje te entrego nas mãos, para que saibas que eu sou o Senhor.
14 Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ”
14 Acab perguntou: Por quem será ela entregue? O profeta respondeu: Assim fala o Senhor: Por meio dos servos dos chefes de províncias. Quem começará o combate? Tu mesmo.
15 Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000).
15 Acab passou em revista os servos dos chefes de províncias, e encontrou duzentos e trinta e dois. Depois contou todo o povo dos israelitas, e viu que eram sete mil.
16 Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira.
16 Saíram ao meio-dia, quando Ben-Hadad bebia e se embriagava nas tendas com os trinta e dois reis, seus auxiliares.
17 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba.
17 Os servos dos chefes de províncias tinham saído em primeiro lugar. Ben-Hadad mandou ver o que se passava. Disseram-lhe: São alguns homens que saem de Samaria.
18 N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.”
18 O rei disse: Venham eles para tratar de paz, ou venham para combater, capturai-os vivos.
19 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera.
19 Os servos dos chefes de províncias saíram, pois, da cidade, seguidos do exército.
20 Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi.
20 Cada um deles feriu o seu homem. Os sírios fugiram, perseguidos por Israel; Ben-Hadad, rei da Síria, fugiu a cavalo com alguns cavaleiros.
21 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.
21 Então o rei de Israel saiu e feriu cavalos e carros, causando uma grande ruína aos sírios.
22 Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.”
22 O profeta foi ter com o rei de Israel e disse-lhe: Vai, cobra ânimo e examina o que te é preciso fazer, porque no próximo ano voltará o rei da Síria para atacar-te.
23 Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi.
23 Os servos do rei da Síria disseram ao seu soberano: O seu deus é um deus dos montes; por isso foram mais fortes do que nós. Se os atacarmos na planície, veremos se não somos os mais fortes.
24 Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala.
24 Eis o que tens de fazer: Destitui todos os reis e substitui-os por governadores.
25 Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.
25 Levanta um exército semelhante ao que perdeste, uma cavalaria equivalente e outro tanto de carros. Combateremos na planície e com toda a certeza seremos mais fortes do que eles. O rei ouviu e seguiu o seu conselho.
26 Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri.
26 No ano seguinte, Ben-Hadad, depois de ter passado em revista os sírios, avançou até Afec para combater Israel.
27 Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna.
27 Os israelitas recenseados e providos de víveres foram contra os sírios e acamparam diante deles. Eram como dois pequenos rebanhos de cabras, enquanto os sírios cobriam toda a terra.
28 Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”
28 Então o homem de Deus aproximou-se do rei de Israel e disse-lhe: Isto diz o Senhor: Porque os sírios disseram: O Senhor é um deus dos montes e não das planícies - vou entregar-te nas mãos essa imensa multidão, a fim de que saibas que eu sou o Senhor.
29 Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu.
29 Durante sete dias ficaram acampados um em face do outro. No sétimo dia deu-se a batalha; os israelitas mataram num só dia cem mil sírios.
30 Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.
30 O resto fugiu para a cidade de Afec, mas as muralhas caíram sobre os vinte e sete mil sobreviventes. Ben-Hadad, que se refugiara na cidade, escondia-se de quarto em quarto.
31 Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”
31 Seus servos disseram-lhe: Ouve: nós temos ouvido dizer que os reis de Israel são clementes. Ponhamos sacos sobre nossos rins e cordas ao nosso pescoço, e vamos ter com o rei de Israel; talvez ele te poupe a vida.
32 Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”
32 Cingiram-se, pois, com sacos pelos rins, puseram cordas em volta do pescoço, e apresentaram-se ao rei de Israel, dizendo: Teu servo Ben-Hadad roga-te: Concede-me a vida! Ele está ainda vivo?, perguntou Acab; mas ele é meu irmão!
33 Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.
33 Tomando bom augúrio dessas palavras, os sírios tomaram logo a palavra de sua boca e disseram-lhe: Ben-Hadad é teu irmão! Trazei-mo, disse o rei. Veio Ben-Hadad à presença de Acab, e este mandou-o subir ao seu carro.
34 Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.
34 Vou restituir-te, disse Ben-Hadad, as cidades que meu pai tomou do teu. Terás um quarteirão em Damasco, como meu pai o tinha em Samaria. Eu, disse Acab, feita esta aliança, te deixarei partir. Acab fez um tratado com Ben-Hadad e deixou-o ir livre.
35 Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.
35 Então um dos filhos dos profetas disse ao seu companheiro, por ordem do Senhor: Fere-me. Mas o outro recusou.
36 Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.
36 Porque não ouviste a voz do Senhor, disse-lhe o primeiro, logo que me tiveres deixado, serás morto por um leão. Mal se havia afastado, um leão o encontrou e o matou.
37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu.
37 O profeta, encontrando depois outro homem, disse-lhe: Fere-me. Este homem lançou-se contra ele e o feriu.
38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge.
38 Então postou-se o profeta no caminho por onde devia passar o rei, pondo nos olhos uma faixa que o tornava irreconhecível.
39 Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’
39 Tendo o rei passado, ele pôs-se a gritar-lhe: Teu servo estava em pleno combate, quando alguém lhe trouxe um homem, dizendo: Guarda este homem! Se ele desaparecer, a tua vida responderá pela sua, ou então pagarás um talento de prata.
40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”
40 Mas andando o teu servo ocupado daqui e dali, o prisioneiro desapareceu. O rei de Israel disse-lhe: Esta é a tua sentença; tu mesmo a pronunciaste.
41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi.
41 Então o outro tirou subitamente a faixa que lhe cobria os olhos, e o rei viu que ele era um dos profetas.
42 N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ”
42 Ele disse ao rei: Eis o que diz o Senhor: Pois que deixaste escapar de tuas mãos o homem que eu tinha votado ao interdito, tua vida responderá pela sua, e teu povo pelo seu povo.
43 Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.
43 O rei de Israel voltou para a sua casa sombrio e irritado, e chegou a Samaria.
Atalhos do teclado
- Capítulo anterior←
- Próximo capítulo→
- Versículo anteriork
- Próximo versículoj
- Limpar seleçãoEsc
- Esta ajuda?
Estude este capítulo no WhatsApp
Peça à IA da Bíblia Fala para explicar 1 Reis 20, comparar traduções ou montar um estudo — tudo direto pelo WhatsApp.